ENKALU KU TTAKA: E Wakiso amasasi ganyoose, waliwo abakwatiddwa
Poliisi eriko abantu beekutte e Kakunyu mu district ye Wakiso oluvanyuma lw'okukkakana ku bintu ebisangibwa ku ttaka erikayanirwa nebabyonoona.
Mu byonooneddwa mu baddemu Ssengenge abadde yasibwa ku ttaka lino.
Abakuumi ababadde ku ttaka lino bawaliriziddwa okuwandagaza amasasi mu bbanga okutuusa poliisi wetuukidde okukkakanya embeera. Kinajjukirwa nti Minisita w’ebyettaka Sam Mayanja yali yalagira RDC we Wakiso abantu bano okuddzibwa ku bibanja byabwe ekitannaba kukolebwa.