Engaba y’eddagala: Aba minisitule y’ebyobulamu baagala wabeewo ebikyuka
Ministry y'ebyobulamu eyagala enkyukakyuka mu kisaawe ky'ebyobulamu nga buli kimu kyakudda mu nkola eya digito. Ministry eyagala buli kikolebwa okuviira ddala ku kusaba eddagala mu materekero okutuuka ku kukuuma ebiwandiiko okuba nga bizzibwa ku kompyuta okusinga empapula nga bwegubadde. Kyokka entekaateka eno, waliwo abalowooza nti eyinza okulemesebwa yintanenti embi n'amasannyalaze.