ENDAGAANO YA DP NE NRM: Abalondoola ensonga boogedde Mao kyagatta ku NRM
Abatunuulira eby'obufuzi bagamba Pulezidenti Museveni okuwa Pulezidenti wa DP Norbert Mao ekifo mu Gavumenti ya NRM kyongera buwagizi eri gavumenti eri mu buyinza mu mambuka ga Uganda oluvannyuma lw'okufiirwa eyali spiika Jacob Oulanya. Bo ab'oludda oluvuganya gavumenti balabuddwa okukola ennyo bwebaba baakuvuganya ne NRM mu kitundu kino.