EMPAABA Y’EMISANGO: Eyeesigamye ku mutimbagano etongozeddwa leero
Ab’essiga erikola obulamuzi, batongozza enkola eya Electronic Court Case Management Information System oba ECCMIS. Eno ya okuyamba Bannayuganda okukozesa kkooti nga oli ne bw’aba tatuuseeyo mu buntu, asobola okufuna obuweereza. Okugezesa enkola eya ECCMIS kutandikidde Kampala olwo omwezi ogujja, ogw’okuna, kkooti e Mukono nayo etandike okugikozesa.