EMISANGO GY’EBISIYAGA :Kkooti e Jinja egaanye abakazi babiri okweyimirirwa
Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Jinja Agnes Musiime agaanye Lydia Mukoda ne Mune Martha Naigaga okweyimirirwa bano nga bavunaanibwa kwenyigira mu bisiyaga. George Williamson Teitika Kitimbo Taata wa Mukoda ne Muganda we Michael Waiswa bebabade baze okweyimirirwa Mukoda ne Mune. Oludda oluwaabi luwakanyiza bano okweyimirirwa nga bwelutegeezezza nga okunoonyereza bwekukyagenda mu maaso . Era bano bategeezezza kkooti nga Mukoda bwayinza okutiisatiisa abajulizi abali mu musango guno. Kati bano baziddwayo mu kkomera okutuusa nga enaku zo'omwezi nnya omwezi ogujja Abamu ku bazadde abaalumba essomero omusomesa ono mweyali asomesa olw'ebigambibwa nti ono yali atumbula ebisiyaga babaddewo era nga bakyawera nkolokooto okubirwanyisa.