EMBEERA MU KULONDA: E Busia amaduuka gasiibye maggale, emirimu gitambudde kasoobo
E Busia ku ludda lwa Kenya, kumpi tewali mulimu gukoleddwa, bannansi b'eggwanga eryo bwe bakedde mu bifo awalondebwa okusalirawo eggwanga lyabwe mu kalulu k'okulonda omukulembeze wa Kenya. Eby’entambula bibadde bizibu kubanga n’abavuga motoka ezisaabaza abantu ezaakazibwako erya Matatu, paaka baazigadde nebagenda okulonda. Bano okuggalawo emirimu n’eby’entambula kinyigirizza nnyo emirimu ku ludda lwa Uganda.