Ebifo eby'ekuusa ku bajulizi, laba engeri uganda gy’eyinza okubifunamu mu by’obulambuzi
Ebikujjuko by’abajjulizi ebibeera e Namugongo buli nga Satu omwezi ogw’omukaaga bimanyiddwa okubeeera egyimu ku mikolo egisinga okukunganya abantu okuva kuno n’ebweru w’eggwanga.Kyokka newankubadde bangi ku bantu bano baggya okwongera okunyweze okukkiriza kwabwe ,waliwo abagamba nti singa gavumenti ekolera wamu n’enzikiriza ez’enjawulo okubunyisa amawulire agakwata ku ku Bajulizi, Uganda yanditandika okwenogera obuwanana bw’ensimbi okuva mu balambuzi abeeyunira ebifo ebikwata ku bajulizi.Peter Sserugo ayogeddeko n'abali mu kisaawe ky'obulambuzi n’ebatubuulira ekyamangu ekigwana okukolebwa.