EBIDIBA BY’AMAZZI E BUKOMANSIMBI : Abatuuze bagamba kafuuse kattiro
Abatuuze mu district y'e Bukomansimbi bali mu kusoberwa, olw'abantu abazze bafiira mu bidiba ebyazimbibwa gavumenti okutaakiriza ku kizibu ky'ebbula ly'amazzi mu kitundu.Abantu abasoba mu kkumi be baakagwa mu bidiba bino naye anga abatuuze bakisibye ku gavumenti okulemererwa okusiba olukomera ku bidiba bino.Olwaleero Omuwandiisi wa misitule y'eby'obulamu asindikiddwa mu kitundu okuzuula embeera nga bweri era n'asuubiza abatuuze nga gavumenti bw'egenda okubaako n'eky'ekola.