EBBAGO LYA NSSF LIYISE: Abakozesa abatawaayo ssente bubakeeredde
Omukozesa anaalemwa okusasula ensimbi z'omukozi eza NSSF waakusibwanga emyaka etaano, ate awe n'engassi ya bitundu 20 ku buli 100 ogw’omugatte gw'ensimbi zaabadde tasasula. Bino byebimu ku bibonerezo ebiteereddwa mu bbago li NSSF Amendment Bill eriyisiddwa palamenti olwaleero. Mu bbago lino muteereddwamu akawaayiro akakkiriza abantu abaliko obulemu abaterese ne NSSF okumala emyaka 10 nga bawezezza emyaka 40 okufuna 50% ku nsimbi zaabwe.