Beatrice Nyakaisiki Byenkya asimbiddwa mu kkooti naggulwako emisango
Ssentebe w'akakiiko k'ebyettaka aka Uganda Land Commission, Beatrice Byenkya alabiseeko mu kkooti ewozesa obukenuzi n'avunaanibwa emisango egyekuusa kukukozesa obubi wofiisi. Ono avunaaniddwa wamu n’abakuumi be basatu nga balangibwa kulemesa bakozi mu ofiisi ya kaliisoliiso okunoonyereza. Byenkya emisango gino byombi agyegaanye era ye n'abakuumi be babiri kkooti ebakkiriza okweyimirirwa.