Banneekoleragyange e Mbale basabye gavumenti okubayamba ebawe entandikwa
Bannekoleragyange mu kibuga Mbale basabye government okubayamba ebawe entandikwa basobole okuva mu mulimu guno kubanga mbeera y’ebasindikiriza okwetunda. Tukitegedde nti bangi ku bakola omulimu guno bazadde abalina abaana era babaleka waka n’ebadda ku kubo okunoonya sente ezibabezaawo. Kyoka okusomooza kwebafunira mu mulimu guno tekulojjeka nga bangi betegefu okuguvaamu singa bafuna entandikwa. Omusassi waffe Herbert Kamoga abadde mu bitundu by’e Mbale gyawayirizaamu n’ebannekolera gyange bano ng’abamu abasanze ku makubo gy’ebakolera.