Bannakibiina ba NUP abamu tebabadde na biwandiiko bikakasiddwa okusunsulwa
Ebbugumu lyeyongedde mu kwewandisa kw'abegwanyiza ebifo ebyenjawulo ku kaadi y'ekibiina ki National Unity Plartform okuvuganya mu kalulu ka 2026.Kubadde kuyisa bivvulu na kukola katemba nga bangi ku beegwanyisa kaadi balabikako okwolesa ennyonta yaabwe.Abavunaanyizibwa ku byokulonda mu NUP bategezeezza nga bwe basomoozeddwa bannakibiina abataleese biwandiiko bya buyigirize ebikakasiddwa amatendekero gye baayita.