Bannakibiina ba NRM 2,718 be baaggyeyo empapula ku bwassentebe, meeya n’obubaka
NRM etubuulidde nti bannakibiina 2718 be baggyeyo empapula okwesimbawo ku kaadi y'ekibiina nga Ku bano, bannakibiina 2165 bebeegwanyiza ebifo mu palamenti so nga 553 beegwanyiza bwa ssentebe bwa disitulikiti kko n'obwa meeya bwa munisipaali ezenjawulo. Mu kubalabala okwangu ekibiina kikungaanyizza obuwumbi obukunukkiriza mu musanvu mu nteekateeka eno era ng'okusinziira ku ssentebe w'ekakiiko k'ebyokulonda mu kibiina kino Tanga Odoi, zino zaakuweebwa abanaakwatira ekibiina bendera okubayambako mu kuwenja akalulu. Mu ngeri y'emu akakiiko ka Odoi leero lwe kasunsudde Sipiika wa Palamenti Anita Among okukwatira ekibiina bendera ku kifo ky'omubaka omukyala owa disitulikiti ye Bukedea era nga mu kibiina talina amuvuganya.