Bangi basiibye beeyiwa mu maka ga Sudhir Ruparelia okukubagiza Rajiv
Abantu ab'enjawulo omuli n'abakulu okuva mu gavumenti eyawakati kko n'e mmengo bakungubagidde Rajiv Ruparelia, afiiridde mu kabenje mu kiro ekikeesezza olwaleero. Bangi ku bano basiibye bagenda omu ku omu mu maka ga Sudhir Ruparelia, Taata w'omugenzi okumukubagiza olw'okufiirwa mutabani we era abadde akulira emirimu mu Ruparelia Group. Eby'okuziika tebinnamanyika.