BAMUDDUUKIRIDDE: Omubaka Ssegirinya adduukiridde Babirye
Ng’ayita mu bayambi be ssaako Mukyala we Omubaka wa Kawempe North Muhamad Segirinya adduukiride omukyala aliko obulemu Edith Babirye omutuuze w’e Kiwatule mu Balintuma zone gwetwaakulaga nga ennaku emuyonka butaaba Ono bamuletede eby’okulya, ebitabo kwosa n’ebvintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo. Bano bavumiride eky’abasajja abasulirira obuvunanyizibwa bwabwe. Bategezeza ng’omubaka Segirinya bweyasubiza okuzimbira Babirye enyumba amangu dala ng’atereddwa, nga nemuwala wa Babirye bakumuwa bursery ng’okusoma kuzeemu.