Anderson Burora awandiikidde Pulezidenti Museveni amuwummuze
RCC wa Rubaga Anderson Burora wabula nga kati yawummuzibwamu okumala ekiseera kya nnaku 28, awandiikidde omukulembeze w'eggwanga nga amusaba amuwummuze ku mulimu gweyamutuma .
Ono agamba nti ekiseera kyeyawumuzibwa ku murimu ssinga kigwako nazzibwayo kijja kirekawo ekifaananyi kibi naddala eri ba RDC abeefunyiridde okulwanysia enguzi, so nga ne mukiseera kino woofisi y'omukulembeze w'eggwanag mwakolera emirimu ekubiddwamu ebituli oluvanyuma lweyawummuzibwa kwe naddala bwekituuka ku balwanyisa enguzi.