Abeegwanyiza bendera ya NUP e Wakiso batandise okusunsulwa
Akakiiko akalungamya ebyokulonda mu kibiina ki NUP ka Elections Management Commitee katandise okusunsula abaagala okukwatira ekibiina bendera mukalulu ka 2026 mu disitulikiti ye Wakiso. Kyokka mu ngeri eyenjawulo omu ku babadde bavuganya ku kifo ky'omubaka wa Munisipaali ye Nansana, John Bosco Sserunkuuma amanyiddwa nga Kaana Kambaata awanduse mu lwokaano. Ono agamba nti kati waakuvuganya ku kya meeya wa Munisipaali ye Nansana.