Abasuubuzi boogedde byebafiiriddwa mu muggalo
Bbo abasuubuzi bagamba nti bafiiriddwa byansuso mu naku 42 ez'omuggalo nga kyetaagisa gavumenti okubakwasizaako okulaba nga buzineesi zabwe zidda engulu. Bano era bajjukiza gavumenti okwongera ne bannayini bizimbe kwebapangisa obutabakanda ssente zabupangisa.