Abasawo bagamba eddwadde z’omutima zeeyongedde
Abakugu okuva mu ddwaliro erijjanjaba ab'omutima erisangibwa e Mulago, basabye bannansi okussa ennyo essira ku ndwadde ezikwata ku mutima kubanga zeeyongedde. Abasawo bategeezezza nti mu ggwanga abantu bangi mu bulabe obw’okukwatibwa obulwadde buno.