Abantu musanvu beebakakwatibwa ekirwadde kya Ebola ,atuuse e Kyegegwa
Minisitule y'ebyobulamu ekakasiza nga bwewaliwo abantu musanvu abakwatiddwa ekirwadde kya Ebola, okusinziira ku sampulo ezaatwaliddwa ku kitongole kya Uganda Virus Institute. Omu ku bakwanaganya abali ku gw’okulwanyisa ekirwadde kino mu minisitule y'ebyobulamu Dr Henry Kyobe ategeezezza abakulu mu kitongole ky'ensi yonna eky'ebyobulamu nti kati amaanyi bagatadde ku kunoonya abo bonna abaasissinkanyeeko n’abakwatiddwa ekirwadde kino.