Abajaasi ba UPDF balumbye poliisi,bakubye abaserikale n’abantu baabulijjo
Embeera ne kati ekyali ya kimpoowoze ku poliisi y’e Lubowa ku Luguudo oluva e Kampala okudda Entebbe Oluvanyuma lw’abaserikale b’eggye lya UPDF okulubagana poliisi eno olunaku lw’eggulo ne bakuba n’okulumya abaserikale kwossa abantu baabulijjo abasangiddwawo.
Bano oluvanyuma ne bakuulise n’abamu ku basibe abaasangiddwa mu mikono gya poliisi abalowoozebwa nti baabadde bannaabwe ababadde bakwatiiddwa ku nsonga ezitannaba kutegeerekeka.
Bbo abamu ku baserikale n’abantu baabulijjo abaalumiziddwa tubasanze bakyanyiga biwundu.