Abaana abaabula e Mateetee: Emirambo gyabwe poliisi egizudde mu kaabuyonjo
Waliwo abantu munaana abakwatiddwa Poliisi ye Ssembabule kubyekuusa ku mirambo gyabaana babiri egyazuuliddwa mu kabunyojo emu esangibwa mu kitundu kino. Emirambo gino gyazuuliddwa mu kikwekweto kya poliisi okuzuula amayitire g'abaana bano abaali babuze ku bazadde baabwe ng'omu yabula nga 10 omwezi gw'omukaaga so nga omulala yabula nga 2 omwezi guno.