Aba gav’t z’ebitundu batuuyanidde mu PAC nga bannyonnyola ensimbi y’omuwi w’omusolo
Akakiiko ka palamenti akalondoola ensasanya ya ssente z’omuwi w’omusolo katadde abakulu okuva mu ministule ya gavumenti ez’ebitundu ku nninga okunnyonnyola butya bwe baatuuka okusasaanya obukadde bwa ddoola 18 mu kusasula omusolo gwa VAT ku bukadde bwa ddoola mwenda bwokka.
Bano baagezezzaako okwennyonyonnyola naye nga ababaka balaba tekigadda omusolo okwekubisaamu emirundi ebiri.
Abakulu era balemereddwa n'okunnyonnyola ku buwumbi 64 ezaali ez'okuzimba obutale ezaafundikira nga zikozeemu bintu birala.