Aba ANT bakyadde e Mmengo, Katikkiro Mayiga abasibiridde entanda
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayagala bannabyabufuzi bakomye okutwala ebyobufuzi nga akazanyo akabaalatirwamu, kko n’okusaagirwamu. Kamala byonna bino abitegeezeza banna kibiina ki Alliance for National transformaton abamusisinkanye e Bulange e mmengo nga bakulembeddwamu Gen Mugisha Muntu. Gen Mugsha Muntu amutegeezeza nti basazeewo okukyala embuga naddala bwebakimanya nti bbo ne Buganda emiramwa kwebatambulira gyifanagana naddala empisa kko n’obuntu bulamu.