“Tusula bweru”: Abaagobwa ku ttaka balaajana
Waliwo abatuuze b'e Kagadi abasobeddwa olw'abantu abajja babanyagako ettaka lyabwe bbo nebasigala ng'emmomboze. Bino biri mu ggombolola y'e Ndaiga okuliraana ennyanja Muttanzige nga abagambibwa okunyaga ku batuuze ettaka balina n'ebyapa ebyafulumizibwa mu 2013. RDC w'ekitundu kino Lillian Ruteraho naye ebigambo byamususseeko kubanga akyewuunya engeri enju z'abatuuze gye zaamenyebwamu abeeyita ba nnanyini ttaka nga ab'obuyinza tebategeddeeko.