“TEWEERIMBIKA MU BYA BISIYAGA”: Waliwo abawabudde Sipiika ku nsasaanya ya Palamenti
Abalondoola ensonga nga bwezitambula mu ggwanga baagala sipiika wa Palamenti ave mu kwekweka mu nsonga y'ebisiyaga saako n'obuwagizi bwa Pulezidenti Museveni wabula ayanukule ebibuuzo bannayuganda byebalina ku nsaasaanya ya Palamenti ezze erabikira mu mawulire erabika nga erimu okudiibuuda ssente z'eggwanga. Kiddiridde Sipiika Anita Among okutegeeza ng'ebigenda mu maaso mu palamenti bwebiwagirwa abaagala okumusuuza ekifo kye eky'obwasipiika n'okumuvunaana okuyisa etteka ku bisiyaga.