“NGENDA KWESIMBAWO”: Kasolo yeyanjudde e Mbuga, Katikkiro Mayiga amulambise
Katikkiro Charles Peter Mayiga alowooza nti efujjo eryetobeka ennyo mu by'obufuzi by'akatyo kano, biviiriddeko abantu bangi okwennyika mu mitima, kwossa okweraliikirira nga kino kibalemesa okwetaba mu kulonda.Wano wasinzidde okwegayirira bannabyabufuzi abeetaba mu bikolwa nga bino okukikomya.Mukwata ddamula bino abyogeredde mu nsisikano gy'abadde nayo ne minisita omubeezi Ow'ebibiina by'obwegassi Haruna Kasolo akiseeko e Mbuga okufuuwa Kamalabyonna amawulire g'okwegwanyisa ekifo ky'omumyuka wa ssentebe w'ekibiina ki NRM mu bitundu bya Buganda.