‘MUKUUME AKALULU KA 2026: Bobi Wine akubiriza ab’omubukiika-kkono
Akulira ekibiina ki National Unity Platform,Robert Kyagulanyi, asisinkanye abakulembeze okuva mu bitundu okuli Acholi, Lango ne West Nile,okwongera okubanyikiza enjiri y’enkyukakyuka.Bano baasisinkanye mu kibuga Gulu ,ababuulidde nti akalulu ka 2026 tekagenda kuba ka batitiitizi , kale nga balina okuyiga okulemerako n’obutatya - kyokka nabasaba obutagwamu suubi newankubadde bayita mu kunyigirizibwa.