ETTIMA E KIKUUBE: Taata awadde abaana be obutwa, 2 bafudde
Waliwo taata ow'emyaka 44 okuva mu disitulikiti ye Kikuube eyeewadde obutwa n'abaana be bana era nga babiri ku bbo bafudde nga bakatuusibwa mu ddwaliro. Taata n'abaana abalala babiri bbo bakyapoocheza mu ddwaliro e Hoima ngabasawo bakola butassa mukka butassa mwoyo okutaasa obulamu bwabwe. Poliisi mu bitundu bya Albertine etandise ogwayo ogwokunoonyereza ekyavuddeko embeteza era ng'essaawa yonna baakuggula emisango ku musajja ono singa awona .