“Abaagenze tebakosa kibiina,” FDC eyogedde ku babaka baayo abeegasse ku PFF
Ab’ekibiina ki FDC basambazze ebigambibwa nti ekya babaka abaayabulidde ekibiina ne beegatta ku kibiina ekiggya ki PFF, kyakwongera okubanafuya oba okutaataganya emirimu gyabwe. Bano bategeezezza nti essira kati balitadde ku kulaba nga FDC yeddiza ebifo by’abo abo bonna abaagyabulidde.