Obunenke nga liigi eggwako: Villa , vipers ne KCCA bonna beetaaga buwnaguzi enkya
Nga liigi y'ababinywera esigazizzaayo emipiira ebiri okukomekkerezebwa , SC VIlla, Vipers ne KCCA bonna enkya b'etaaga buwanguzi nga balwanirira ekikopo. SC Villa ekyaza Blacks Power e Wankulukuku ate Vipers egenda Buikwe okukyaliira Bul FC mu kisaawe ky'a FUFA Technical Centre e Njeru. KCCA yakuttunka ne Busoga United mu kisaawe ky'e Kakindu. Omupiira guno gutisizamu omutendesi wa KCCA Jackson Mayanja engeri Busoga United gyekyalwana okusigala mu liigi.