YIGA OKUYIIYA: Esther Baligeya Kabalagala amusiikidde emyaka 20
Okusiika kabalagala kiwulikika nga kyabulijjo era nga business eyanguyira abasinga. Kyoka okubeera ow’enjawulo okulabira mu bakasitoma n’engeri kabalagana wo gyatambulamu. Ogenda kulaba Esther Baligeya eyegulidde erinnya mu kusiika kabalagala nga n’abali ebweru w’eggwanga bamwettanira olw’enjawulo gyalina ku mulala. Mu myaka 20 gy’amaze nga asiika kabalagala yazimba ennyumba emuletera ssente kati.