Wuuno omukyala alabirira abaana abataliko mwasirizi
Mu mboozi zaffe ez’abakyala zetweyama okukulaga omwezi guno gwonna kati katulabe omukyala ku kyalo Ssango "A" e Buwama mu disitulikiti y'e Mpigi eyewaayo okukung’aanya abaana ababuliddwako abaabwe n’abalabirira nga ababe.
Omukyala ono Agnes Kagugube wa myaka 60, kyoka yewaayo okuyamba abaana bano awatali wadde okusaba omunwe ggw’enusu.