TUSAANA KUDDUUKIRIRWA : Enkuba yagoyezza ebyalo 3 e Kassanda
Namutikwa w’enkuba eyatonnye mu kiro ekyakeseza olwaleero yalese abatuuze b’okubyalo bisatu mu gombololola y’e Myanzi mu Kassanda nga bafumbya miyagi. Enkuba eno eyatandise ku saawa bbiri ez’ekiro nga yabaddemu kibuyaga eyasudde enyumba eziwera n’okwonoona emmere y’abantu.