Tukuleetedde omukyala Florence Mukasa eyalwanirira okutandikawo amasomero g’aba kiggala aga siniya
Mu mboozi zaffe ku bantu abatawulira nga bajaguza emyaka 50 mu kulwanirira eddembe lyabwe, olwaleero tukuleetedde omukyala Florence Mukasa eyalwanirira okutandikawo amasomero g’aba kiggala aga siniya mu ggwanga wamu n’okwongera ku muwendo gw’ago aga pulayimale. Bano baalina amasomero 2 gokka mu ggwanga lyonna ate nga ga pulayimale ng’omwana olumalako pulayimale atwalibwa mu bya mikono. Mukasa era abadde musaale nyo mu kulwanirira eddembe ly’abantu abatawulira. Jennifer Kabaale awayizaamu naye.