TUBAKOOYE KU KYALO :Abafumbo bakwatiddwa ne kasooli omubbe
E Kabanyolo mu ggombolola y’e Namasagali mu Kamuli abatuuze batabukidde abafumbo babaviire ku kyalo nga babalumiriza okubba emmere yabwe. Kino kidiridde abaagala bano okukwatibwa n’ekifuluusi kya kasooli agambibwa okuba nti baabadde bamubye munnimiro y’omukadde Jennifer Nabirye. Abakwate okuli Sylvia Nanyende ne Charles Waiswa basibye emiguwa nebabeetissa kasooli okubatwala gyebaabadde bamujje. Poliisi evumiridde ekikolwa ky’abatuuze ate okudda ku bateeberezebwa okuba ababbi okubakuba.