Tetuli bamativu: E Masaka abakulembeze beemulugunya ku mirimu egyikolebwa
Abakulembeze e Masaka nga bakulembeddwamu meeya w’ekibuga kino Florence Namayanja ayagala minisitule y’eby’obulamu enoonyereze ku nsimbi ezikozeseddwa okusimba ebisulo by’abasawo ku ddwaliro lya Kyabakuza health centre II.
Bano bagamba mpitirivu okusinziira ku kizimbe ekizimbiddwa nga zandikoze ekisingawo - bbo ba yinginiya bakalambidde nga bwebagoberera ebyo ebyabaweebwa mu pulaani.
Bino okutuukibwako babadde balambula mirimu egyikolebwa mu kibuga kino.