Ssemugera yafuna obubenje bubiri, talina buyambi
Patrick Ssemugera yafuna akabenje emyaka munaana emabega oluvanyuma lw’emmotoka gyeyali akanika e Mbarara okumugwira n’emumenya enkizi n’asanyalala okuva mu kiwato.
Kyoka nga bwebagamba ekuba omunaku tekya, ate yali ku kagaali kwebaali bamuvugira emmotoka ya taxi neddamu okumutomera - mukiseera kino ali waka oluvanyuma lw’okubulwa ensimbi ezimutwala mu ddwaliro.