Poliisi egamba, Kyagulanyi yetuusizako obuvune
Poliisi ekakasizza nga bwetagenda kwesigama ku butambi obuli ku mutimbagano okukyusa byeyayogedde olunaku lw’eggulo nga Kyagulanyi bweyatalantuse ng’agezaako okulinya emmotoka y’e Bulindo- Kira neyetusaako obuvune. Ayogerera poliisi Kituuma Rusoke agambye Kyagulanyi n’abawagizibe bebaasosonkerezza Poliisi nga baggala ekkubo, okukakkana nga bawaliriziddwa okukozesa omukka ogubalagala. Kyoka agamba nti mpaawo kyebayinza kukakasa mu kaseera kano okujjako nga bamaze okukola okunoonyereza okwekikugu ku byabaddewo.