OMUYIGGO GWA BA KKONDO E BWAISE : Babulidde mu maduuka ge babadde banyaga
Poliisi e Bwaise ekedde kugobagana n’abateberezebwa okubeera ba kkondo abaayingiridde amaduuka g’abasuubuzi.
kitegerekese nti bakkondo bano baamenye amaduuka asatu ne bayingira mu budde obw’ekiro, kyoka abatuuze baategedde mangu ne babazingiza.
Babanoonyezza mu maduuka okutuuka ku makya, kyoka abasinga badduse ne bakwatako omwana wa myaka 14 abadde abayambako.