Eyeeyokerezza e Bweyogerere: Banne bagamba abadde nga mu kwennyika olw'ensonga z'amaka
Kitegeerekese nga Fred Ssekabira eyeeyokerezza mu nju n’ab'omumaka ge olunaku lw'eggulo bwaludde nga munyiikavu mu mutima kyebagamba nti kyandiba nga kyekyamuviirideko okwekyawa Okusinziira ku bavuzi ba Boda Bodo ono b'abadde akola na'abo, Ssekabira aludde nga alina obutakaanya ne mukyalawe ng’entabwe evaku kubaliga Enteekateeka z'okukebera endagabutonde z'abenganda babaafiiridde mu muliro guno zigenda mu maaso n'oluvannyuma abagenzi baziikibwe