OMULIRO MU NDEEBA :Ebibanda by'embaawo n'e kkanisa biyidde
Mu kiro ekikeeseza olw'okutaano omuliro gukutte ebibanda by’e mbaawo mu Ndeeba, ne kanisa ya Victory Church ebintu bya Bukadde ne bisirikka. Abamu ku batuuze bagamba nti omuliro gwandiba nga gwavudde ku Transformer y’a masanyaleze eyayabise okukakana nga omuliro gulanze. Poliisi etandise okunoonyereza ku nsibuko y’omuliro guno.