OMULIRO E NAKASONGOLA: Omu afudde, 4 baddusiddwa mu ddwaliro
Omuntu omu afiiriddewo n’abalala bana nebaddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lw’okwokebwa omuliro ogukutte ekkolero ly’embaawo erya Nile Fibreboard Ltd mu disitulikiti y’e Nakasongola. Kigambibwa nti omuliro guno gwatandise ku ssaawa nga mwenda ogw’ekiro ekyakeesezza olwaleero.