Omukazi afiiridde mu loogi e Kamuli
Abatuuze b’e Mawembe mu muluka gw’e Kagumba mu ggombolola y’e Kagumba e Kamuli bakeeredde mukusoberwa okusanga omukazi nga afiiridde mu loogi. Ono yabadde agenze kwesanyusaamu n’omusajja atamanyiddwa kyoka webukeeredde nga omukazi mufu, ab’oluganda lw’omukazi ono bagamba nti birimu ebya kalogo kalenzi.