OLUKIIKO LWA BUGANDA: Essira liteekeddwa ku nkaayana ku ttaka
Obwakabaka bwa Buganda busambazze ebizze byogerwa, ng’ekitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka ki Buganda Land board bwekitaaliiwo mu mateeka.
Okusinziira ku David Manga, akulira akakiiko akaateekebwawo okunoonyereza ku mivuyo gy’ettaka, ekitongole kino kiwandiise mu mateeka kwosa n’emirimu gyonna gy’ekikola.
Ensonga eno abadde kumwanjo nnyo mu Lukiiko lwa Buganda.