OKUZZA EMIREMBE MU GGWANGA: Bannakyewa baagala gisomesebwe mu masomero
Bannakyewa baagala emirembe lifuuke essomo mu masomero gonna mu ggwanga okutangira okwekalakaasa okususse mu masomero ko n’obutabanguko mu ggwanga.
Aba International Conference on Great Lakes Region bagamba nti abayizi bakula tebamanyi ngeri ya mirembe eyinza okuyitwamu okugonjoola ensonga okukakkana nga bafuuse ba bulabe eri eggwanga.
Bano batongozezza nakatabo kebatuumye Peace Education Handbook okuyambako mu kulambika abasomesa.