OKUTASA OBUTONDE BWE NSI : NEMA ne poliisi bakose ekikwekweto mu Lubigi
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw'ensi mu Uganda ki NEMA wanmu n'ab’eby'okwerinda bakedde kukola ekikwekweto ku bantu abeesenza n'abakolera mu Lutobazi lwa Lubigi.
Mubukuumi obw'ekitalo, bano baleese abavubuka bakira abakoona obuyumba obwateekebwa mu lutobazi luno ko n'okusaawa ebirime ebisangiddwamu.
Okusinziira ku ssenkulu w'ekitongole kino, bano sibakuttira muntu yenna kuliiso anaasangibwa mu lutobazi luno.