OKUTASA OBUTONDE BW'ENSI:Ebiragiro bya NEMA bya kutandika okukola omwezi ogujja
Ekitongole ki KCCA ne kivunaanyizibwa ku butonde bwe nsi ki NEMA, boolekedde akaseera akazibu mu kukwasisa etteeka ku kumansa kasasiro, okutaasa entobazi n’ebireekaana mu kibuga.
Kino kiddiridde abantu ab’enjawulo okuvaayo okuliwakanya, nga baagala liddeyo ly’ekkanyizibwe.
NEMA egamba etteeka lino lyakutandika okukola nga lumu omwezi ogujja nga ne poliisi gyebuvuddeyo yategeeza nga bwegenda okukwatagana n’ekitongole kino okuliteekesa mu nkola.