OKUSIMA AMAFUTA: Bannakyewa basabye gavumenti okukola ku bikolwa by’okulinyirira eddembe ly’obuntu
Bannakyewa abalwanirira eddembe ly’abantu abali mu bifo omusimwa amafuta basabye gavumenti okukola ku bikolwa by’okulinyirira eddembe ly’obuntu e Hoima mu kifo kyokwegaana. Bano bagamba nti mpaawo atayagaliza Uganda kuganyulwa mu mafuta, naye okutaatira eddembe ly’obuntu, kko n’obwenkanya kikulu. Bino byogeddwa mukusiima ekitongole ki Africa Institute for Energy Governance olw’okulwanirira eddembe ly’abatuuze mu bifo omusimwa amafuta.