OKUSENGULWA KU TTAKA: Ab'e Kyangwali bakyakonkomadde ewa RDC
Waliwo abatuuze abasoba mu 1000 abagobwa ku ttaka e Bukinda mu Kyangwali abatutte kati omwezi ogw’okubiri nga bagumbye ku woofiisi ya RDC w’e Kikuube nga bagamba nti tebalina waakudda.
N’okutuusa kati abantu bano tebafuna kuddibwamu kuva mu woofiisi ya Ssaabaminisita.